A
Ada Ogochukwu Ehi (yazaalibwa mu Gwomwenda 1987), amanyiddwa olw'erinnya lyakozesa ku sitaagi erya Ada Ehi, Omunigeria ono muyimbi wa nnyimba za ddiini era muwandiisi wa nnyimba.[1] Yatandiika okuyimba nga alina emyaka 10 era yatandikira mu child star Tosin Jegede. Bweyatandiikira obukugu bw'okuyimba mu Loveworld Records mu 2009, ettutumu lye ne lye yongera mu nsi ye wamu n'amawanga ageebunayiira ng'ayita mu nnyimba ze wamu n'obutambi bwazo.[2][3]