Crispus Kiyonga

Chrispus Kiyonga Ssenkulu wa ssettendekero Makerere

Crispus Walter Kiyonga (yazaalibwa 1 January 1952) munna Uganda eyakuuga mu busawo obw'okujanjaba abantu. Ono era munnabyabufuzi era nga ye ssenkulu(Chancellor) wa ssettendekero Makerere. [1] Ono okutuuka ku bukulu buno yadda mu bigere bya kakensa Ezra Suruma eyali akomekkereza ebisanja bibiri eby'essalira ku bukulu buno era natuuzibwa mu butongole nga 2 Ogwekkumi 2024 ku lunaku okwali omukolo ogw'okuggulawo ekizimbe ekikulu ku yunivasite e Makerere ekimanyiddwa ennyo nga Ivory Tower.[2][3][4][5] Dr Kiyonga era y'omu ku banna Uganda abalina obukugu mu nkolagana zamawanga era nga yaliko omubaka Uganda mu kibuga Beijing mu ggwanga lya China . [6] Kiyonga era yaliko Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zebyokwerinda wakati wa 2006 ne 2016. [7]

Kiyonga era yaliko Minisita Atalina buvunaanyizibwa bwa nkalakkalira mu ofiisi ya Pulezidenti okuva mu 2005 okutuuka mu 2006. Kiyonga era yali mubaka w'abantu mu paalimenti ya Uganda akiikirira Bukonjo ey'obugwanjuba mu bitundu bye Kasese okumala emyaka egisoba mu 35 yadde nga ekifo kino yakifiirwa mu kulonda kwa 2016 bwe yameggebwa Godfrey Atkins Katusabe. [8]

  1. https://www.independent.co.ug/dr-crispus-kiyonga-is-new-chancellor-of-makerere-university/
  2. https://ugandaradionetwork.net/story/dr-kiyonga-installed-makerere-university-chancellor
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/makerere-s-ivory-tower-reopens-with-new-features-and-technology-4783330
  4. https://softpower.ug/dr-crispus-kiyonga-installed-as-chancellor-of-makerere-university/
  5. https://news.mak.ac.ug/2024/01/prof-suruma-on-50-years-at-mak-8-years-as-chancellor/#:~:text=Ezra%20Suruma%2C%20Chancellor%20Makerere%20University,Chancellor%20(2016%2D2023).
  6. https://www.independent.co.ug/kiyonga-presents-credentials-china-president-xi-jinping/
  7. Mukasa, Henry (2 June 2006). "Ministries Allocated". New Vision. Kampala. Archived from the original (Archived from the original on 11 December 2014) on 11 December 2014. Retrieved 18 April 2019.
  8. https://ugandaradionetwork.net/story/fdc-sweeps-kasese-as-defense-minister-dr-kiyonga-loses-out

From Wikipedia, the free encyclopedia · View on Wikipedia

Developed by Nelliwinne