Express Football Club, mu bumpi emannyiddwa nga Express, kiraabu ya Uganda ey'omupiira okuva mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Kiraabu eno emipiira gyayo egy'ewaka egisambira ku kisaawe kya Muteesa II Wankulukuku Stadium.[1]