Jane Aceng

Jane Ruth Aceng Ocero

 

Jane Ruth Aceng yazaalibwa nga 11 Ogwokutaano mu 1968, nga nga Munayuganda ajanjaba abaana n'eddwadde zaabwe, wamu n'okubeera munabyabufuzi. Ye Minisita avunaanyizibwa ku By'obulamu mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[1] Wabula nga kino tekinaba, mu Gwomukaaga mu 2011 okutuuka mu Gwomukaaga 2016, yawerezaako nga nga eyali akulira eby'obulamu mu Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku By'obulamu.[2]

  1. https://web.archive.org/web/20190331230605/https://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%252527s%2Bcabinet.pdf
  2. https://web.archive.org/web/20190126001156/https://mobile.monitor.co.ug/-/691260/1190606/-/format/xhtml/-/3mx8p3/-/index.html

From Wikipedia, the free encyclopedia · View on Wikipedia

Developed by Nelliwinne