Jessica Rose Epel Alupo, gwebasinga okumannya nga Jessica Alupo, ye ow'omwenda era omumyuka wa pulezidenti wa Uganda okuva mu 2021.Munabyabufuzi Omunayuganda, omusomesa, ate eyaliko munamaggye. Yawerezaako nga minisita w'eby'enjigiriza mu kabineeti ya Uganda, wakati wa 2011 ne 2016. Era ono ye mukyala omubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira Disitulikiti ye Katakwi.[1]