Julia Sebutinde mulamuzi Munayuganda ali mukuwereza ekisanja kye eky'okubiri mu Kkooti y'Ensi Yonna oluvanyuma lw'okuddamu okulondebwa mu Mweezi gw'ekumin'ogumu 2, 2020. Y'akulira Yunivasite ya Muteesa I Royal Yunivasite , Yunivasite yo Obwakabaka bwa Buganda. abadde mulamzi wa kkooti okuva mu gw'okusatu 2012. Ye mukazi asoose okuva ku Ssemazinga wa Africa okukola ne kkooti y'Ensi yonna.[1][2] Nga tanalondebwa kukola na kkooti ya Nsi yonna, Sebutinde yali mulamuzi wa Special Court for Sierra Leone. Yalondebwa kw'ekyo ekifo mu 2007.