Moses Ali eyazaalibwa nga 5 ogwokuna 1939 Munnayuganda, Munnabyabufuzi ate nga Munnamagye eyawummula. [1]Ye mumyuka wa Prime Minisita owookubiri era nga y'amyuka akulira ebya bizinensi za gavumenti mu paalamenti.[2] Yakolako mu Kabineti ya Uganda nga Omumyuka wa Prime minisita owookusatu n'omumyuka w'akulira ebya bizinensi za gavumenti okuva mu Gwokutaano 2011 okutuuka mu Gwomukaaga 2016.[3] Yakolako nga Amyuka Prime Minisita asooka okuva mu gwomukaaga 2016 okutuuka mu gwokutaano 2021.[4] Yaliko era abadde Mubaka wa paalamenti akiikirira East Moyo County mu Adjumani Disitulikiti okuva mu 2011.[5]