Olukiiko olw'Enkyukakyuka mu Bufuzi bwa demokulasiya

Template:Infobox political party   Forum for Democratic Change mu luswahili: Jukwaa la Mabadiliko ya Kidemokrasia; FDC yatandikibwawo mu mwezi ogw'ekumineebiri nga 16 mu 2004, nga kyekibiina ekisinga okuvuganya mu Uganda.[1]FDC yatandikibwawo ng'ekibiina ekigata abantu ekiyitibwa Reform Agenda, nadala abaayisibwamu amaso nga baali bagoberezi ba pulezidenti ba kibiina kya pulezidenti Yoweri Museveni ekya National Resistance Movement (NRM). Pulezidenti w'ekibiina Kizza Besigye, eyali munywanyi nnyo wa Museveni, yeesimbawo ku bwa pulezidenti mu 2001, 2006, 2011 ne 2016.Mu mwezi gw'ekuminoogumu mu 2012, Mugisha Muntu yalondebwa ku bwa pulezidenti wa FDC okutuusa omwezi ogw'ekuminoogumu mu 2017 bweyawangulwa Patrick Oboi Amuriat aliko kati nga pulezidenti w'ekibiina kino n'okutuuka kati.2022.[2]

FDC ebadde emu kubibiina ebisinze okuvuganya NRM mu 2006, 2011, ne 2016 ku bwa pulezidenti n'ebifo mu palamenti ku ky'obukiise. Besigye yeeyali pulezidenti w'ekibiina kino nga yafuna obululu 37 ku 100 ng'avuganya Museveni eyafuna 59 ku 100. Besigye yalumiriza obufere n'obubi bw'obululu era n'agaana ebyaava mu kulonda kuno.

Mukulonda kwa bonna nga 23 mu mwezi ogw'okubiri mu 2006, ekibiina kyawangula ebifo 37 ku 289. Mukulonda kw'obwa pulezidenti okwaliwo mu naku z'omwezi, Besigye yawangula obululu 37.4 ku 100. Mukulonda kwa 2011, ekibiina kyakola bubi nga Besigye yafuna obululu 26.01 ku 100, ekibiina nekiwangula ebifo 34.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171103060423/http://www.refworld.org/docid/4e43d2ba2.html
  2. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1466364/amuriat-fdc-party-president

From Wikipedia, the free encyclopedia · View on Wikipedia

Developed by Nelliwinne