Rose Rwakasisi (yazaalibwa mu 1945) Munnayuganda, muwandiisi,[1][2][3] musunsuzi, muwandiisi w'emboozi ennyimpi,[4] muyiiya w'engeri y'okusomesa era musomesa. Yali mumyuka w'akulira essomero lya Old Kampala Secondary school, Nakasero secondary school ne Kyamate Secondary School mu Ntungamo.[5] Ye Dayilekita w'essomero lya St. Luke secondary schools era nga musomesa w'essomo lya Biology.[6]