Serverus Jjumba

 

Serverus Jjumba yazaalibwa nga 2 Ogwomusanvu mu 1962, nga Munayuganda omubuulizi mu ddiini y'obukatulikiti, awereza nga Omusuumba mu Ssaza ekulu ery'Eddiini y'Obukatulikiti e Masaka.[1]

Yatekebwa mu kifo ekyo nga 16 Ogwokuna, 2019 ng'era baamutikira okubeera omusuumba nga 6 Ogwomusanvu, 2019 e Kitovu mu Masaka.[1][2]

Yazaalibwa nga 2 Ogwomusanvu, 1962 e Katinnyondo mu Kyannamukaaka, mu Disitulikiti y'e Masaka, mu bitundu bya Buganda mu Uganda, muSsaza ly'Abakatuliki ekulu ery'e Masaka. Bazadde bbe kuliko omugenzi Herman Jildo Ssebiranda ne Leocadia Namazzi.[1][2]

Yasomerako ku Augustine’s ne St. Paul Primary School e Kitovu mu Masaka. Oluavnnyuma yeegata ku buseminaaliyo obuto obw'e Bukalasa mu Disitulikiti y'e Kalungu. Oluvannyuma n'asomera ku Buseminaaliyo bwa St. Thomas Aquinas obukulu mu Katigondo, mu Disitulikiti y'e Kalungu.Yamaliriza emisomo gye egy'okuyiga ebikwata ku Katonda ku Buseminaaliyo Obukulu obwa St. Mary’s e Ggaba mu Kamapala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina ne Diguli ey'okubiri mu mu By'enjigiriza ne Dipulooma mu By'okuyigiriza ku By'ediini, nga bino byonna byamuweebwa kutendekero lya Makerere University, yunivaersity ya gavumenti esinga okubeera enkadde era enene mu Uganda.[3]

  1. 1.0 1.1 1.2 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bjjumba.html
  2. 2.0 2.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/From-Streicher-Jjumba-Masaka-gets-5th-Bishop/688334-5184700-cqxpe9/index.html
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/Pope-appoints-new-Masaka-Bishop-/688334-5074408-9o5by/index.html

From Wikipedia, the free encyclopedia · View on Wikipedia

Developed by Nelliwinne