Thelma Awori Munnayuganda, pulofeesa, yali muyambi w'omukulembeze w'amawanga amagatte era omulwanirizi w'omwenkanonkano mu bakyala. Yazalibwa nga 25, Ogwokusatu 1943, mu Monrovia, Liberia era nga y'aggya mu Uganda mu 1965.[1] Yali wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress, eyawangula ekisinde.[2] Mukyala okuva mu Africa akiririza mu mwenkanonkano, obwenkanya n'okuwa ekitiibwa ebiteeso n'ensonga z'abakyala. Yasanga embeera eyali yasaasanyizibwa wonna ey'obukosefu ku bwongo obwali buva ku ddini n'embeera abantu mwebawangalira.[3][4]