Ripabulika ya Uganda[1] | |
---|---|
Flag
Coat of arms
| |
Motto: Template:Omubala {omubala|["Kulwa Katonda n'Eggwanga Lyange"] Error: {{Lang}}: unrecognized language tag: Luganda (help)}} | |
Anthem: "Ayi Uganda, Ettaka ly'Obulungi" | |
Capital | Kampala |
Largest city | ekibuga ekikulu |
Official languages | |
Olulimi lw'eggwanga | Luganda |
Ennimi ezogerwa | Okusukka ennimi 70 |
Religion (2014 okubala abantu)[7] |
|
Demonym(s) | Munnayuganda[8] |
Government | Unitary dominant-party presidential republic |
Yoweri Museveni | |
Jessica Alupo | |
Robinah Nabbanja | |
Legislature | Palamenti |
Obwetwaze okuva e Bungereza | |
• Dominion | 9 Okitobba 1962 |
9 Okitobba 1963 | |
• Semateeka aliwo | 8 Okitobba 1995 |
Area | |
• Total | 241,038 km2 (93,065 sq mi) (79th) |
• Water (%) | 15.39 |
Population | |
• 2021 estimate | ![]() |
• 2014 census | ![]() |
• Density | 157.1/km2 (406.9/sq mi) (75th) |
GDP (PPP) | 2022 estimate |
• Total | $129.48 akawumbi[12] (88th) |
• Per capita | $2,960[12] (172nd) |
GDP (nominal) | 2022 estimate |
• Total | ![]() |
• Per capita | ![]() |
Gini (2016) | ![]() medium |
HDI (2021) | ![]() low · 167th |
Currency | Silinji ya Uganda (UGX) |
Time zone | UTC+3 (EAT) |
Driving side | left |
Calling code | +256a |
ISO 3166 code | UG |
Internet TLD | .ug |
Uganda, mu butongole Ripabulika ya Uganda lye ggwanga elitalina mwaalo. Lyetoloddwa [15]mu buvanjuba bwa Afirika. Egabana ensalo ne Kenya e buvanjuba, Sudan y'Omaserengeta mu mambuka, Ripabulika ya Demokurase eya Kongo, Rwanda mu maserengeta buvanjuba, ne Tanzania mu maserengeta. Ekitundu kya maserengeta kirimu ekitundu kinene eky'Ennyanja Nalubaale, egabanibwa ne Kenya ne Tanzania. Uganda eri mu kitundu omusangibwa amayanja amanene aga Afirika, esangibwa mu kifo omusibuka omugga Kiyira, era elina embeera y'obudde ey'enjawulo eya yikweta. Nga bwekiri mu 2024, elina abantu obukadde 49, okwo obukadde 8.5 babeera mu kibuga ekikulu era ekibuga ekinene ennyo, Kampala.
Uganda erina erinnya okuva mu bwakabaka bwa Buganda, obuzingiramu ekitundu ekinene eky'ebukiikaddyo bw'eggwanga, nga mw'otwalidde n'ekibuga ekikulu Kampala[16] era nga olulimi lwabwe Luganda lwogerwa nnyo mu ggwanga lyonna. Okuva mu 1894, ekitundu kino kyafugibwa Bungereza, ekyatandikawo amateeka g'obufuzi mu bitundu byonna. Uganda yafuna obwetwaze okuva mu Bungereza nga 9 Okitobba 1962. Okuva olwo wabaddewo entalo nnyingi, nga mw'otwalidde n'obufuzi bwa bannamaje obwamala emyaka munaana nga bukulemberwa Idi Amin.[17]
Olulimi olutongole lwe Lungereza, wadde nga Ssemateeka agamba nti "olulimi olulala lwonna luyinza okukozesebwa ng'ensomesa mu masomero oba mu bitongole ebirala eby'enjigiriza oba mu mateeka, mu by'obufuzi, oba mu misango nga bwe kiragibwa mu mateeka". Luganda, olulimi olwogerwa mu bitundu bya Buganda, lwogerwa nnyo mu bitundu bya Buganda n'ebukiikaddyo bw'obuvanjuba bw'eggwanga, era n'ennimi endala nnyingi nazo zoogerwa omuli Luteso, Lulango, Lucholi, Lunyoro, Lunyankole, Lukiga, Luluo, Lutooro, Lusamia, Lujopadhola, ne Lusoga. Mu 2005, olulimi Oluswayili, olwali lutwalibwa ng'olutalina kakwate konna n'olulimi olulala olw'omu Uganda, lwatongozebwa okuba olulimi olw'okubiri olukozesebwa mu Uganda, naye olulimi olwo telunnakkirizibwa mu palamenti.[18] Mu 2022 Uganda yasalawo okufuula Oluswayili essomo ly'ekiragiro mu nsoma y'essomero.[19]
Pulezidenti wa Uganda kati ye Yoweri Kaguta Museveni, eyajja ku buyinza mu Jjanwali 1986 oluvannyuma lw'olutalo lwa bannalukalala olwamala emyaka mukaaga. Oluvannyuma lw'okukyusa mu ssemateeka ekyajjawo ekkomo ku bwapulezidenti, yasobola okwesimbawo n'alondebwa ku bwapulezidenti mu kulonda kwa 2011, 2016 ne 2021.[20]
§I.3:6.(2): Swahili shall be the second official language in Uganda to be used in such circumstances as Parliament may by law prescribe.
<ref>
tag; no text was provided for refs named cia
Cite error: <ref>
tags exist for a group named "lower-alpha", but no corresponding <references group="lower-alpha"/>
tag was found